Isaiah 19:1-17

Obunnabbi Obukwata ku Misiri

1 aObunnabbi obukwata ku Misiri:

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.

2 bEra ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
3 cAbamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
4 dEra ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,
Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri

bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

5 fOmugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
6 gN’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
7 hEbimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8 iEra n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
9 jEra nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 kAbakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 lKale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 mAbakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 n Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 oTewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 pKu lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 qN’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.

Copyright information for LugEEEE